Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 137 listening Simba FM Live

Police erabudde ku kuvuga endiima

August 4, 2016 · Mubiru Ali

Police esabye amakampuni ga Bus okuwa baddereeva ekiseera ekimala okuwummula ate n’ebalabula ku kuvuga endiiba kisobozese okukendeeza obubenje obukudde ejjembe nga n’akamu ku bwo kabaddewo ku luggudo oluva e Kampala okudda e Kampala ekiro ekikeesezza leero .

Kino kijjidde mu kiseerea nga waguddewo akabenje ddekabusa abantu mwenda mwebakakasiddwa nga bafiiriddewo mbulaga ate abalala 16 bakomye ku mugo gwa ntaana nga kati bapookya , akagudde mu bitundu by’e Kamutuuza ng’oyolekera ekibuga Masaka .

Akabenje kano kabaddemu Bus ya Kampuni ya Highway Coach ebadde eva e Kampala nga egenda Kanungu , Bus eno kigambibwa nti eyingiridde lukululana ebadde ku babbali g’oluguudo .

Ye aduumira Police y’ebidduka mu Disitulikiti y’e Masaka Hassana Ssekalema agamba nti obubenje nga buno busobola okwewalika singa abagoba bassaayo omwoyo ssaako  n’okwewala okuvuga endiima .

Wabula abamu ku bakaawonawo  banenya omugoba wa Bus nti yabadde avugisa kimama okuva e Kampala .