Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 314 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Police ekutte emmundu 7 – Kisoro

January 16, 2017 · Mubiru Ali

Police eriko emmundu eziwerera ddala musanvu zekwatidde e Bunagana mu Disitulikiti y’e Kisolo ku nsalo ya Yuganda n’ensi ezigyetoolodde.

RDC wa Kisolo, Haji Shafic Ssekandi agamba nti Police emmundu zino yazikutte nga zitwalibwa mu mmotoka ya buyonjo kika Toyota Premo UAS 978B, nga ba Ofiisa baazikutte ekiro bwebaabadde ppotolo eyabulijjo.

Ayogerera Police mu bitundu bya Kigezi, Elly Mate agamba nti emmundu zino mwabaddemu ekika kya Machine Gun mukaaga ne PK emu.

Disitulikiti eno ey’ e Kisoro gyebuvuddeko ebadde erwanagana n’emisango gy’obutemu obususse ennyo omuli okutta ono n’oli.