Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,650 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Police ekutte bataano ku mwana eyawambiddwa e Mubende

April 12, 2018 · Mubiru Ali

Police e Mubende ekutte  abantu 5 abateeberezebwa okubaako ne kyebamanyi ku kubba omwana ow’emyaka ebiri. 

Okoyo Martin aduumira Police e Mubende ategeezezza nti abakwate bano 5 amannya g’atayatuukirizza olw’okutya okutaataaganya okunoonyereza kwa Police babadde bakubira bazadde b’omwana ono amasimu nga babasaba ensimbi obukadde butaano okusobola okubaddiza omwana waabwe gwebaabadde baawambye.

Okoyo annyonnyodde nti omwana ono bamusanze asuuliddwa mu ppaaka ya Takisi  e Kasambya Mubende webamugye nebamutwalira bazadde be.

Omwana ow’emyaka ebiri ono eyabadde abbiddwa ye Kabugo Evelyn muwala wa Kambasu Moses abatuuze ku kyalo Kkuminamukaaga mu ggombolola y’e Kigando mu Disitulikiti  Mubende .