Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 269 listening Simba FM Live

Police ekkirizza nti yeerina Ingrid Turinawe

May 9, 2016 · Mubiru Ali

Police akawungeezi ka leero ekkirizza nti yakwata akulira  abakyala mu kibiina kya FDC Igrid Turinawe eyalabwako ku kabuga ke Gayaza nga emmotoka ye yeebuluddwa abaserikale ba Police bweyali agenze okukyalira omwana we ku ssomero .

Akulira ekitongole kya Police mu ggwanga General Kale Kayihura akakasizza bino era naagamba nti Turinawe agenda kuggulwako emisango egy’okwenyigira mu bikolwa by’okuguguba  – ebya Difaayanse.

Kayihura ayongerako nti bagenda kwongera okukwata abakulembeza ba FDC abalala abeenyigira mu bikolwa eby’okuguguba nga bawakanya ebiragiro bya Gavumenti .