Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 374 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Police eggye emisango ku Kirumira

February 8, 2018 · Mubiru Ali

Police akawungeezi ka leero eggye emisango ku eyali DPC wa Buyende Muhammad Kirumira oluvannyuma lwa omuwaabi wa Police Catherine Kusemererwa okutegeeza kkooti ya Police nti talina bujulizi bumala  buluma Kirumira ku misango ebiri ogw'okutulugunya wamu n'kukozesa amaanyi agasukkiridde.

Kusemererwa atageezezza kkooti nti Tumusiime Milton munnamawulire wa Red Pepper  yagaanye okuwa obujulizi ku Kirumira nti kubanga tabangako mu kafubo naye mwebamuvunaanira nti yavuba Ssaabapoliisi General Kale Kayihura era bw'atyo Ssentebe wa kkooti ya Police Dennis Odongopiny n'akkiriza Kusemererwa okuggyako Kirumura emisango nga tegiyinza kweyongerayo nga tewali bujulizi.

Wabula Kirumira ataddeyo okusaba kwe okw'okweyimirirwa olwaleero naye nebakugaana era nebamwongerayo ennaku nnya ku alimanda mu kkomera ly'abaserikale ku Railway Grounds mu Kampala nga bwebongera okwetegereza eneeyisa ye