Police e Mubende yaakakwata 80 ku Ppisito eyabbibwa

Police e Mubende ekyali ku  muyiggo gw’ emmundu eyabbibwa ku muserikale waayo gyebagamba nti yandyeyambisibwa mu bikolwa by’ obumenyi bw’amateeka naddala mu biseera bino eby’ennaku enkulu.

Byaruhanga Patrick, nga ye DPC wa Mubende atutegeezezza nti emmundu eyabbibwa ya kika kya ”Pistol” era nga abaagibba baamenya nnyumba ya muserikale esangibwa mu Kirungi gyasula ekiri mu Municipaali y’e Mubende nebakuuliita nayo.

Agasseeko nti mu kiseera kino, bakola ebikwekweto ebyenjawulo okuzuula emmundu eno wa weeri naye nga tebanagifuna, bwatyo kwekusaba Banamubende bonna abalina amawulire agakwata ku mmundu eno okutemya ku Police.

Annyonnyodde nti emmundu yabbibwa ku mu Poliisi avunaanyizibwa ku kulondoola eddagala era nga mu kiseera weyabbibwa yali agenze ku dduuka olwo bantu abatannategeerekeka nebamenya ennyumba nebakuuliita n’ebintu omwali n’emmundu.

Mu kiseera kino, abantu abasoba  mu 80 be baakakwatibwa Police e Mubende okusobola okugiyambako okunoonyereza.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply