Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Pilot wa Helicopter omubadde Sipiika mu kifo kyokumutwala mu Disituliki y’e Kazo amututte Mubende

Pilot wa Helicopter y’eggye omwabadde mutambulira omukubiriza w’Olukiiko Olukulu olw’eggwanga Rebacca Kadaga yabuliddwa endagiriro entuufu ey’ekubo mubwengula mweyabadde alina okuyita okugenda mu Disitulikiti y’e Kazo bwatyo nayolekera Disitulikiti y’e Mubende.

Pilot ategeerekese nti ye Mupaapa Isma yeyabuze, wabula oluvannyuma yazeemu okubuusa Helicopter okuva mu Disitulikiti y’e Mubende okwolekera Kazo awabadde omukolo gwa eyali Principle Private Secretary wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nga kati y’e Omubeezi wa Minisita owa Economic Planning gyeyamutuusizza nga wayiseewo essaawa nnamba.

Wabula guno si gwemulundi ogusoose Sipiika okufuna obuzibu mu Helicopter nga olula mu July 2012, Pilot wa Helicopter ya UPDF yagiteeka mu kisaawe wakati ku Legends Rugby Grounds omupiira wakati wa Rugby Cranes ne Namibia bwegwali gugenda mu maaso neguyimirira eddakiika 33 nga buli omu asobeddwa.

Kadaga eyali anekedde mu gomesi eyakyenvu yavaamu wakati mukusoberwa. Wabula kyazuulwa oluvannyuma nti Pilot yali agenderedde kugissa mu luguudo olulinaanye Legends wabula nawubisibwa abategesi wamu ne Protocol nti yali asobola okukka mu kisaawe nga abazannyi bakyali mubusenge ewambalibwa kumbe baali bali mu kisaawe weyakkira.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort