Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 259 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Pasita afunyisizza wa 14 olubuto, adduse – Kidera

August 24, 2016 · Mubiru Ali

Police mu ggombolola y’e Kidera mu Disitulikiti y’e Buyende eri ku muyiggo gwa musumba agambibwa okukkira omwana omuwala myaka 14 n’amugogombola obumuli. ย 

Pasita ono ye Kagoda Mundu owa Church of God – Kidera nti abadde addira omuwala ono owa Kidera Secondary school n’amubuukirako eggologootiro entakera nga yamufuula nga mukyalawe.

Bino okumanyika kiddiridde akawungeezi ka ggyo abasomesa okusanga omuwala ono n’essimu ey’ebbeeyi wabula wabula omuwala n’ategeeza nga kitaawe bweyagimuwa ekitaabadde kituufu era okukebera ne mu ssimu eno nga mujjudde Ebifaananyi bya Pasita ng’ali bwereere ate n’amaloboozi ga Pasita agawaana omuwala nga bw’amanyi akaboozi. Wabula era bagenze okutwala omuwala ono mu ddwaliro okumukebera ng’alina erya Mugema lya myezi ena. Olwo Pasita bino olumugudde mu gatawulira vvumbe n’amalamu omusulo.