Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 209 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Palamenti eyingidde mu nsonga za bannayuganda abattibwa e South Sudan

June 25, 2016 · Mubiru Ali

Ababaka mu Palamenti basabye Gavumenti ya Yuganda wamu n’abakulembeze ba amawanga ga obuvanjuba okuteeka Gavumenti ya Sudan ey’amaserengeta ekome ku bantu baayo abatulugunya bannayuganda abali mu Sudan ey’amaserengeta.

Bano okwogera bino babadde mu musomo ogukwata ku nsonga za Palamenti ogukukiddwamu abababa mu Palamenti ya mawanga g’obuvanjuba.

Ababaka omuli Mutebi Noah owa Nakasongola, Henry Morris Kibalya owa Bugabula South bagamba nti bannayuganda bangi batulugunyiziddwa ate abandi nebattibwa songa ate bo bannansi ba Sudan ey’amaserengeta bayisibwa bulungi wano mu Yuganda.