Breaking
News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 1,219 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Palamenti eyimirizza emirimu gyayo okutuusa nga Gavumenti ennyonnyodde ku kuttibwa kw’abakyala

September 5, 2017 · Mubiru Ali

Palamenti eyimirizza emirimu gyayo mbagirawo okutuusa nga Gavumenti evuddeyo n’ennyonnyola ku kuttibwa kw’abakyala okukudde ejjembe mu ggwanga. 

Ekiteeso ekiyimiriza emirimu gya Palamenti kireeteddwa omubaka w’essaza ly’e Aru, Odonga Otto nekiwagirwa omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Wakiso era nga ye Minisita Omubeezi ow’ebyenjigiriza bya Pulayimale Rose Mary Sseninde.

Ababaka babadde baakadda okuva mu luwummula era nga olwaleero lwelubadde olutuula lwayo olusooka nga bakoomyewo, era wano omumyuka wa Sipiika,  Jacob Oulanya n’ategeeza nti Palamenti enaddamu okutuula singa Kkilaaka anaabategeezezza nti Gavumenti nneeteefuteefu okunnyonnyola ku nsonga eno !