Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 439 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Palamenti evuddeyo ku ky’amasomero okwongeza ebisale

February 6, 2018 · Mubiru Ali

Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by'enjigiriza kagamba nti kagenda kuyita abakulira Minisitule y'ebyenjigiriza balabikeko eri akakiiko kano bannyonnyole lwaki bakkirizza amasomero g'obwannannyini okujeemera ekiragiro kya Gavumenti negongeza ebisale by'essomero ssaako n'okukana abazadde ebyetaago by'essomero ebingi

Kino kijjidde mu kiseera nga olunaku lwa jjo olusoma olusooka lwatandise mu butongole wabula amasomeo mangi gaajeemedde ekiragiro kya Minisitule eky'obutetantala kwongeza bisale bya ssomero.

Radio Simba bw'ebadde eyogerako ne amyuka ssentebe w'akakiiko k'ebyenjigiriza era nga ye mubaka mu Palamenti owa Palissa, Jacob Opolot ategeezezza nti baakuteeka aba Minisitule ku nninga bannyonnyole lwaki tebatadde kiragiro kyabwe mu nkola eri amasomero g'obwannannyini.