Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku bintu bya Gavumenti kaliko ensimbi ezikunnukkiriza mu buwumbi bubiri zekasobodde okusesemya kampuni ya Abachina enkozi y’enguudo n’ensimbi zino zaali zaabaweebwa mu bukyamu .
Mu ssabbiiti ewedde akakiiko kano kaalagi ra Kampuni ya Chanqin International okuzza ensimbi zino zebaafuna oluvannyuma lw’okudyekadyeka ekitongole ky’ebyenguudo .
Ssentebe w’akakiiko kano, Abdu Kantuntu ategeezezza bannamawulire enkya ya leero nti ensimbi zino zimaze okukomezebwawo era nga kati zibali mu ttaano .
Katuntu ategeezezza nti akawunti empya yamaze dda okuggulwawo ย mu bbanka enkulu esobole okugendako ensimbi zino era n’alabula kampuni endala ezifuna ssente okuva mu Gavumenti nga ziyita mu nkola eyookudyekadyeka zirye kamanye nga akoza n’owebbwa

