Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 999 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Palamenti eragidde Minisita w’ensonga zoomunda mu ggwanga akole okunoonyereza ku bbomu ezisuulibwa mu maka g’ababaka

October 5, 2017 · Mubiru Ali

Palamenti eragidde Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zoomunda mu ggwanga okunoonyereza ku bulumbagayi bwa bbomu ezisuulibwa mu maka g’abamu ku babaka mu Palamenti ab’oludda oluvuganya Gavumenti

Kino kivudde ku kuba nti waliwo bbomu ezaasuliddwa mu maka g’ababaka mu Palamenti omuli owa Makindye ey’obugwanjuba Allan Ssewannyana, ewa Kasibante Moses ne Omubaka Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine era nga zaasuuliddwa abantu abatannategeerekeka.

Ensonga mu Palamenti ereeteddwa omubaka mu Palamenti owa Kitagwenda ,Agaba Abas ategeezezza Palamenti nti amaka g’ababaka bana gasuuliddwamu bbomu nga omwo mwemuli n’agoowa NRM Gordon Bafaki, era wano Sipiika Kadaga w’asinzidde okulagira Minisita w’ensonga zoomunda mu ggwanga aveeyo n’ekiwandiiko ekinnyonnyola kino.