Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 322 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Palamenti ekomewo eteese ku by’okwerinda mu ggwanga – Winnie Kiiza

March 2, 2018 · Mubiru Ali

Akulira Oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti, Hon. Winnie Kiiza ayagala Palamenti eyitibwe bukubirire okuva mu luwummula ababaka lwebalimu, baggye bakubaganye ebirowoozo ku mbeera y'obutali butebenkevu eri mu ggwanga eyeeyongera okusajjuka, basale amagezi okulaba nga embeera edda mu nteeko mangu ddala .

Kiiza asoomoozezza abakulira eby'okwerinda, balekelure singa baba bawulira nti balemereddwa okukuuma obulamu bwa Bannayuganda nga kati abatemu babatta nga bwebaabadde,  agamba nti buvunaanyizibwa bwa Gavumenti okukuuma Bannayuganda 

Winnie anokoddeyo ebimu ku biriwo mu ggwanga omuli okutta abakyala,  ababbi okulumba abantu ku mirimu gyabwe, abagwira abazze bafiira mu zi Wooteeri,  ab'ebijambiya n'ebirala .