Breaking
News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 178 listening Simba FM Live

Palamenti egobye okuggya ekkomo ku myaka

September 14, 2016 · Mubiru Ali

Palamenti akawungeezi ka leero egobye ekiteeso kya omubaka mu Palamenti ow’e Nakifuma,Robert Kafeero Ssekitooleko eky’okukola ennongoosereza mu ssemateeka okuggya ekkomo Ku myaka gy’abalamuzi n’abakozi ba Gavunti abalala .

Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga agambye nti tewali nsonga ya mangu yeetagisa tteeka lino kubanga waliwo mu kiseera kino  ensonga endala ezeetaagisa okukolako okusinga eno . Kadaga ayongeddeko nti ssinakindi n’okukubirira etteeka lino liyinza okubaamu engeri y’ekiwunjukira.

Bo ababaka abamu naddala ab’oludda oluwabula Gavumenti bafunye akamwenyumwenyu Ku matama,bakubidde Sipiika mu ngalo era basiimye ekisaliddwawo .