Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 110 listening Simba FM Live
News

Palamenti egaanyi KCCA okugula ettaka eryobuwumbi 370

July 8, 2023 · Mubiru Ali
Palamenti eragidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA okuyimiriza bunambiro enteekateeka zonna ezokugula ettaka eriweza yiika 10 erisangibwa mu Kisenyi nga zino zibalirirwamu obukadde bwa ddoola 100 bwe buwumbi 370 eza Uganda nga lino libadde ligenda kuteekebwako abasuubuzi. Palamenti egamba nti ssente zino nnyingi nnyo nti ate n’ettaka lyennyini likyaliko enkayana wakati wa Bosco Muwonge agamba nti lirye ne famire eyamutwala mu Kkooti olw’ensonga z’ettaka lino.
Palamenti okukola kino yabadde eteekesa alipoota y’akakiiko ka Palamenti aka COSASE akulirwa Hon. Joel Ssenyonyi mu nkola.