Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii asiimye n’aggalawo Omwoleso gwa Buganda ogw’ebyobulambuzi akawungeezi akayise mu Lubiri e Mengo oguyindidde ssabbiiti bbiri.
Ssaabasajja asinzidde mu mwoleso guno n’asaba abantu n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okufungiza okukuuma obutonde bwensi obulabise nti bwongedde okusereba.
Era Ssaabasajja Kabaka alaze omugaso oguli mu by’obulambuzi wabula n’ategeeza nga bwebutasobola kutojjera singa obutonde bwensi buba tebukuumiddwa.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Waliwo omukazi Maama Mujabiirwe Lydia ne bba Taata Kitanbuliiso Zabandola Fulugensi bano kigambibwa nti beekobaanye nebatta mutabani waabwe Antonio (37) nga bakaayanira ettaka eriwezaako yiika abiri.
Bino bigudde ku kyalo Nakanyansi ekisangibwa mu ggombolola y’e Kibaalinga mu Disitulikiti y’e Mubende.
Namwandu wa Sande Antonio, Nabakooza Joy annyonnyodde embeera eno n’agamba nti bano ono bamukubye bukubi nebamwogoloza.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Wabaddewo okwaziirana n’emiranga ku kyalo Kiruuli ekisangibwa mu ggombolola y’e Kikamulo mu Disitulikiti y’e Nakaseke nga baziika abantu ababiri nga ba mu maka gamu abaafiiridde mu kabenje eggulo.
Abagenzi nga be ba Andrew Ssekitooleko (46) ne Ssentongo Jackson (27) nga babadde bava mu Famire ya Ssentongo Willy ku kyalo Kiruuli, baafiiridde mu kabenje ku kyalo kabanyi mu Kalagala – Luweero Pikipiki kwebaabadde bweyatomeddwa ttipa eyabadde ewenyuka egyakaweewo omu kubo n’emukutulako okugula nekugwa wali era nebakalirawo.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti bano ku Pikipiki baabaddeko basatu naye omulala naye yafiiriddewo lwakuba ye teyategeerekese bimukwatako.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso Matia Lwanga Bwanika agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe bigwanidde okwetegereza obulungi Ppotolo zebikola bamalewo obutakkaanya obuliwo mu Disitulikiti eno.
Bwanika agamba nti ye takkiriza nti waliwo ekibinja ekyavudde e ebunaayira okutandika okutta abantu, ebitongole by’ebyokwerinda birina okwekebera byokka na byokka.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
My kusaala kwa Eid Adhuha, okusaala ku muzikiti e Kibuli mu Kampala kukulembedddwamu Sheikh Yusuf Mutimba era n’alumba ababaka mu Palamenti.
Sheikh Mutimba agamba nti ababaka balina enkola eyookugenda nga bayisa amateeka oluusi aganyigiriza abantu ate bo oluusi nebateefiirayo ku bantu ba kika ki abanyigirizibwa amateeka gano.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Abasiraamu mu Yuganda beegasse ku balala mu nsi yonna okukuza olunaku lwa Eid Adhuha olussibwamu ennyo ekitiibwa nga lujjuukirirwako Jajja w’obukkiriza Ibrahim eyali agenda okuwaayo mutabani we nga ssaddaaka nga Katonda bweyali alagidde.
Ku kitebe ekikulu eky’obusiraamu e Kampala mukadde, okusaala kukulembeddwamu Mufti Shiekh Shaban Ramadan Mubajje n’akubiriza Abasiraamu okuba abakkakamu ate n’ensonga ezikwataganana n’emisango egiri mu kkooti nazo zissibwemu ekitiibwa .
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Bannayuganda mu buli kanyomero k’eggwanga bavulubanye essanyu akawungeezi ka leero, ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes bw’ewuttudde ginnaayo eya Misiri ku ggoolo emu nga Misiri eyanjala ngalo mu kisaawe e Namboole ( Mandela National Stadium).
Ggoolo ya Yuganda eteebeddwa muyizi tasubwa waayo Emmanuel Okwi mu ddakiika eya 51 era nga omupiira gguno gwa bibinja ogw’okusunsulamu abo abaneetaba mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna ezinaayindira mu ggwanga lya Russia mu 2018.
Wetwogerera nga kati Uganda y’ekulembedde ekibinja n’obubonero musanvu(7), n’eddirirwa Misiri ( 6) , Ghana (1) ate Congo n’ekwebera nga ekwata mu lyampiki. Uganda eddamu okusamba Misiri ewaayo ku Lw’okubiri lwa ssabbiiti ejja .
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Yuganda enokoddwayo nga eggwanga erisinga okulya enguzi mu mawanga g’obuvanjuba era nga obuli bw’enguzi buli ku bitundu 41 ku kikumi ate Tanzania n’ekwata kyakubiri nga yo eri ku bitundu 36 ku kikumi sanga Kenya eri mu kyakusatu ate n’ebitundu 34 nga Rwanda eri mu kyakuna n’ebitundu 18.
Okunoonyereza kuno kwakolebwa wakati w’ omwezi gwa Gatonya ne Mugulansigo omwaka guno aba East Africa Bribery Index 2017 nga kwatunuulira abantu okuva ku myaka 18 okudda waggulu.
Okunoonyereaz kulaga nti enguzi esinze kufumbekera mu bitongole ebiramuzi, eby’ettaka wamu ne mu Police okwetoloola amawanga gano ana.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Abantu 12 omuli n’abakyala 2 bavunaaniddwa nebasindikibwa ku alimanda mu kkomera ekkulu ery’e Luzira okuva mu kkooti e Nabweru.
Bano bavunaaniddwa emisango gy’obutemu ku byekuusa ku bakyala abazze batemulwa mu bitundu by’e Nansana ne Ntebe mu Disitulikiti y’e Wakiso.