Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 213 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

PAC ekunyizza abakulira abakozi mu zi Disitulikiti

October 25, 2016 · Mubiru Ali

Akakiiko ka Palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo aka Public Accounts Committee(PAC) kakunyizza abakulira abakozi mu zi Disitulikiti nga Mityana , Kiboga Mubende ne Kyankwanzi, bannyonnyole engeri gyabakozesaamu ensimbi zebakunngaanya mu bantu , ensimbi ezi weebwayo mu nteekateeka ya Bonnabasome, ez’enguudo awamu n’eziddukanya amalwaliro .

Akakiiko kano kali mu kutalaaga eggwanga era nga kabadde kasisinkanye abakulembeze okuva mu Disitulikiti zino ku Kolping Hotel mu kibuga Mityana nga kakubirizibwa Ssentebe waako Reagan Okum.

Akakiiko kano katadde ku ninga akulira abakozi e Kiboga ,. Henry Mugumeannyonnyole ku nsimbi zebajja ku bantu abasala emiti mu bibira n’okwokya amanda nga bagamba nti abantu bandinnyonnyodde wa ensimbi gyebazissa ate n’ani agabira abantu bano olukusa .

Era mu ngeri y’emu n’akulira ebyenjigiriza e Kiboga alagiddwa okunnyonnyola ku nsimbi mmeka Gavumenti zeebawa okuyambako mu nk0la eya Bonnabasome