paasita afeze abakyala obukadde 39

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Paasita Fred Tabu 50, ow’ekkanisa ya Great Hope Ministries e Mukono atemeza mabega wa mitayimbwa mu kaduukulu ka Poliisi y’e Sseeta ku misango egy’obufere. Abakyala abeegattira mu kibiina kye ekiwola n’okutereka ensimbi ekya ‘Teap Uganda’ bamulumiriza okubaggyangako ensimbi ne yeefuula azitereka kyokka ng’azikozesa bibye era nga bamubanja obukadde 39.
Baategeezezza nti, ekiseera kyatuuka okufuna ssente zaabwe nga Paasita Tabu takyalabikako ng’abasindikira ew’omuwala ayitibwa Barbara Namatembe eyazisoloozanga, ng’ono ye yabategeeza nti ssente zaabwe ziri mu mikono gya mukyala wa Paasita, Perusi Kiwala.
Hasifa Namuyomba abadde akola ng’omuwandiisi w’ekibiina kino ku kyalo Nantabuulirwa yagambye nti, baatandika okumuteresa ensimbi zaabwe mu mwaka gwa 2018 okuva mu January nga baali bakuzifuna mu December nga 21.
Pr. Tabu yakwatiddwa oluvannyuma lw’okwetwala ku Poliisi y’e Sseeta kyokka nga yasoose kubuuza oba abakyala tebaliiwo ne bamukakasa nti tebaliiwo.
“Tabu twasuubira nti, tusobola okumwesiga ne tukunga bakyala bannaffe abawera 89 ne tumuteresa ssente zaffe. Abamu tukola emirimu emizibu okufuna ssente era twali tuzeesunze okwekulaakulanya kubanga abamu tubadde tusuubira okufuna ezisoba mu kakadde akamu”, Namuyomba bwe yagambye.
Namuyomba yategeezezza nti beewunyizza omutima gwa Pr. Tabu nti mu kiseera we baamunonyeza abawe ssente zaabwe ng’ababuzeeko, baasalawo okukwata abakozi be basatu okuli, Barbara Namatembe, David Mugabi n’omulala gwe bataategedde mannya ne babaggalira kyokka n’abeegaana nti, tabatumangako ne yeerema okubalambula yadde okubaleetera emmere n’amazzi.

Share.

Leave A Reply