Breaking
News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Okwewandiisa mu Ngule kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Abasawo be Masaka abaali bakwatibwa ku biragiro bya Minisita wa Gavumenti ezebitundu Hon.
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 218 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Paapa Francis akomekkerezza olunaku olusooka .

November 27, 2015 · Mubiru Ali

IMG-20151127-WA0010

Omutukuvu Paapa Francis ayaniriziddwa mu kitiibwa ate mmizira ku kisaawe e Ntebe akawungeezi ka leero .

Zibadde ziwera essaawa 11 : 07 ez’akawungeezi , Ennyonyi ya Paapa n’etonnya ku kisaawe e Ntebe era n’ayanirizibwa Pulezidenti Museveni n’abakungu abalala okuva mu Gavumenti ne Bannaddiini , neboolekera amaka g’obwa Pulezidenti  agali e Ntebe , ate oluvudde eyo Paapa gy’avudde  n’ayolekera Munyonyo eyo asisinkanye abasomesa (Amasomero ) n’abasomesa eddiini (Catechists ).