Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing Simba FM Live

Ow’olubuto n’abasajja babiri bakwatiddwa mukukuba ebiccupuli

July 13, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Mpigi ekutte abantu 3 abasangiddwa ne ssente ez’ebiccupuli obukadde 7 eza Uganda. Bano baabadde bazigabira aba Mobile Money wamu nabo abatunda ebintu mu madduuka mu bitundu ebyenjawulo omuli Lukaya, Nyendo, Kayabwe, Buwama, Mpigi, Nsangi ne Kyengera nga bakozesa nnyo oluguudo lwa Kampala-Masaka.

Mr Josephat Mbonigaba, nga ye OC CID ku Poliisi y’e Buwama agamba nti abakwate kuliko Sam Kiyemba, Isaac Odoki ne Rahmah Nampijja nga ono alina olubuto lwa myezi 4 nga batuuze be Wakiso.

Bano baabadde batambulira mu motoka Toyota Premio nnamba UAK 102D. Bano bakuumirwa ku Poliisi ye Buwama nga nokunoonyereza bwekugenda mu maaso.