Ow’emyezi 9 agiiridde mu muliro e Kisoro

Omwana ow’emyezi 9 agiiridde mu muliro ogukutte ennyumba yonna nesirikka mu ggombolola ye Chahi mu Kisoro Disitrict. Taata w’omana ono ow’obuwala Innocent Sabiiti agamba nti yafiiridwa buli kimu nga talina nawatandikira.

AIP Friday Deogratious OC w’ekitongole ekizikiriza omuliro ku Poliisi y’e Kisoro agamba nti abasajja be batuuse mangu okuzikiriza omuliro guno wadde nga tebasobodde kutaasa kintu kyonna. Akubiriza abazadde okufaayo ennyo ku baana baabwe naddala nga balese omuliro mu nnyumba.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
enkuba erese abatuuze ku byalo 6 nga bakaaba twawa