Ow’emyaka 80 akubye mukyala we ow’emyaka 30 amasasi namutta naye neyekuba amasasi

Abatuuze be Nakwaya ku kyaalo Bombo mu ggombolola y’e Kikandwa e Mityana bakubiddwa enkyukwe abafumbo bwebasowaganye Omwami nakuba mukyala we amasasi agamujje mu budde naye neyekuba amasasi agamutaddeko ebisago ebiwera.

Samuel Bariluno, 80, nga musuubuzi wa sipeeya mu katale e Wakiseka yakubye mukyala we Agnes Nakimera, 30, nafiira mu ddwaliro lya Bukomero Health Centre IV.

Okusinziira ku Ms Alice Namugenyi, omu kubawulidde akavuvungano nga kava ku kulwawo okumuwasa mu butongole.

Abaana bagamba nti bwebadde balaba TV wabula abazadde nebatandika okuyomba okumalira ddala kumpi essaawa nga 4 mbu oluvannyuma kitaabwe nagyayo emmundu nakuba Maama waabwe era bweyalabye nga ali mu mbeera embi naye neyekuba amasasi agamulumizza ennyo.

Mw. John Bosco Serunjoji, nga ono ye District Police Commander we Mityana akakasiza kino era nategeeza nti Baliruno ali mu ddwaliro erya Mulago National Referral Hospital, nti era yakozeseza mmundu yabwanannyini era nga bali mukuoonyereza okusobola okumanya butya bweyafunamu emmundu eno.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
lwaki URSB abantu ssente ababa bagenda okugattibwa mu masinzizo – Bp. Katumba