Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 272 listening Simba FM Live

Ow’emyaka 70 awambiddwa e Namugongo

June 5, 2018 · Mubiru Ali

Ab’oluganda lw’omukyala ow’emyaka 70 Winnie Nsekanabo bali mu bweralikirivu nti omuntu waabwe yandiba nga yawambiddwa oluvannyuma lw’omuntu atanategerekeka okubakubira essimu ng’abasaba ssente zeyakozesezza okumulabirira ekiro kyonna.

Kigambibwa nti Nsekanabo yatwaliddwa omuntu atanategeerekeka era nga yasoose kubakubira ku ssimu gyebatamanyi ate oluvannyuma natandika okukozesa eya Nsekanabo. Poliisi egamba nti yatandise dda omuyiggo nga eri wamu n’ekitongole kyayo ekya ‘Tracking’ okugezaako okufuna omumpembe ono.