Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 263 listening Simba FM Live

Ow’emyaka 2 afiiridde mu kidiba – Mityana

April 22, 2016 · Mubiru Ali

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Bamunaakika ekisangibwa mu Municipali ye Mityana omwana wa myaka ebiri bw’agudde mu kidiba n’afiirawo.

Kayiwa Sharif mutabani wa Ssevvume Shafik kiteeberezebwa nti abadde agoberera nnyina gwalowoozezza nti agenze ku luzzi wabula ate ebbujje lino olutuuse ku luzzi liguddemu bugwi nga abaana abalala ababadde bagenze okukima amazzi balisanze ku ngulu nga ze mbuyaga ezikaza engoye.

Wabula Police ezze bukubirire nennyululayo omulambo n’egwekebejja oluvannyuma n’eguwa bannyinigwo baguziike. Kitalo.