Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 412 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Ow’ekitiibwa omulamuzi nze ndi mulalu – Pressure 247 (Musana Ibrahim)

February 23, 2024 · Mubiru Ali
Musana Ibrahim aka Pressure 247 eyali yegumbulidde okuvuma Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku Tiktok asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi owa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa emisango okuli okuvvoola nokwogera obubaka obwobukyaayi ku Kabaka wa Buganda ne Pulezidenti Museveni. Wabula Musana ategeezezza omulamuzi nti ye byeyakola mu butambi obugambibwa okusiga obukyaayi ku bakulembeze 2 teyakimanya nti yali azza musango kuba alina ekizibu ku bwongo nti era yali yakava mu Ddwaliro e Butabika.
Ono ayongeddeko nti emizimu gya Bassekabaka gimusumbuwa nga gimulagira okuddaabiriza amasiro nti wabula awandiikidde Buganda amabulawa agawerako ngabategeeza nti talina nsimbi zakudaabiriza masiro wabula nga tebamwanukula.
Bya Christine Nabatanzi