Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 139 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Owek Kyewalabye-Male alambudde embuga ya Namuyonjo e Bugerere

February 22, 2020 · Mubiru Ali

Minisita w’Obuwangwa, Embiri n’Obulambuzi Owek. David Kyewalabye Male olwaleero okyaliddeko omukulembeze w’ennono e Bugerere Omulangira Namuyonjo Yuda Kayemba ku mbuga ye e Wabunyonyi mu Kayunga naasubiza nti Obwakabaka bwetegefu okukolagana naye okuzimba embuga eno okugiteeka ku mutindo oguweesa Obwakabaka ekitiibwa.

Owek. Kyewalabye ategeezezza nti Namuyonjo wa nkizo nnyo mu Ssaza lye Bugerere kubanga y’ayunga Abanyala ku bukelembeze bw’Obwakabaka. N’olw’ekyo okukyalira Namuyonjo ebadde emu ku nteekateeka z’Obwakabaka okumutongoza mu kifo kino oluvannyuma lwa Ssaabasajja okumusisinkana gyebuvuddeko n’alagira bagoberere emitendera n’amateeka okulaba ng’atuuzibwa ku lubiri lwe a Wabunyonyi.