Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 1,145 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Ow’e 70 alamaga kuva Kasese .

May 27, 2016 · Mubiru Ali

Ekibinja ky’abalamazi 480 okuva e Congo ne Kasese omuli ne namukadde ow’emyaka 70 kituuse e Mubende leero naye nga enswera bagigobya lulimi.

Abalamazi bano bakulembeddwamu Anthony Lubuya Wonki era nga bano baasimbula e Congo nga 18.05 .2016  ne beegatta ku bannaabwe okuca e Kasese nga 20.05.2016 .

Abalamazi bano mu kiseera kino bagumbye ku Ttendekero lya basomesa erya Mubende National Teacher’s College webagenda okusimbula akawungeezi beeyongere okutuuka e Namugongo .

Namukadde ow’emyaka 70 ono  Zahura Rose ategeezezza nti guno gwe mulundi gwe ogw’ekkumi ng’alamaga nti era tafunanga buzibu bwonna mu kutambula kuno .

Mu balamazi bano okuva e Congo, Kasese , Fortportal , Kyegegwa ne Kyenjojo mulimu n’omwana omulenzi ow’emyaka 13 Mugisha Albert eyavudde e Kasese .