Breaking
News: Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agamba nti Ekitiibwa kya Buganda, kyoleka obutamanya, kuba Abaganda batemdereza Bajjajabwe abedda olwokulwa News: Amir Wamala, nannyini Amigo Farm Limited esangibwa ku Kyalo Rwanyangwe, mu Gombolola ye Kashongi, mu Disitulikiti ye Kiruhura bwabadde ayogerako News: Waliwo Ekika ngabantu baakyo batambuliranga mu kibinja ekyaviirako ebika ebirala okubekengera? Kimpe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 52 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

owa updf asibiddwa emyaka 40 lwakutta mukazi we

March 21, 2019 · Mubiru Ali

L/CPL. Bernard Okumu 44, nga mujaasi mu ggye lya UPDF mu nkambi y’amaggye e Luwunga Kakiri yasindikiddwa mu kkomera e Luzira amaleyo emyaka 40 oluvannyuma lw’okukiriza nti ddala yatta mukazi we Annet Kebirungi.
Lt. Gen. Andrew Gutti Ssentebe wa Kkooti y’amaggye yeyawadde Okumu ekibonerezo era nga yasinzidde ku kkiriza kwe okumuwa ekibonerezo.
Yamutegeezezza nti omusango gwe yazza munene nnyo ng’omuntu aguzzizza bwe gumusinga naye asalirwa gwa kufa wabula kkooti yamusaasidde kubanga alabika yeenenyezza kye yakola.
Gutti yagambye nti Okumu oluvannyuma lw’okukkiriza omusango baamusaliddeko ku kibonerezo ne bamusiba emyaka 40 wabula wa ddembe okujulira ssinga abeera tamatidde na nsala ya kkooti eno.
Okumu yakkiriza nti nga July 6, 2018 e Luwunga mu Barracks e Kakiri , Okumu yatta Annet Kebirungi oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya. Kigambibwa nti yamutemaatema ebiso omulambo n’agusuula mu nsiko eyali eriranyeewo.
Nga wayise ennaku ntono, Okumu yagenda ku Poliisi n’agitegeeza nga mukazi bwe yali awambiddwa nga wayise wiiki nnamba nga tamulaba.
Oluvannyuma omulambo gwa Kebirungi gwazuulibwa mu nsiko nga gutandise okuvunda era Okumu bwe yakwatibwa n’akkiriza nti ddala yamutta kubanga yali amusuubiriza okubeera n’omusajja omulala.