Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 822 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Owa UPDF akubye Ssentebe w’akakiiko akalwanyisa envuba embi esasi erimutiddewo

June 7, 2019 · Mubiru Ali

Munamaggye atanategeerekeka mannya akubye Ssentebe w’akakiiko akalwanyisa envuba embi mu Disitulikiti y’e Buvuma era y’e Councillor akiikirira e Gombolola y’e Kyabaana, Omw Steven Lukoma esasi erimutiddewo.

Kigambibwa nti omugenzi yabadde atambulira ku lyato lye limu n’abajaasi nga bagenda bakwaata abavuba mu nvuba embi wabula munamaggye yabaddeko abavubi beyabadde agenderera okuyimiriza, olwakubye esasi mu bbanga nerikwata omugenzi mu kifuba.

Ensasage eno ebaddewo ku saawa nga 11 ez’omumatulutulu ga leero.

Omugenzi Steven Lukoma abadde w’amaanyi mu kitundu nga n’omwalo gw’e Lukoma okufana erinnya eryo gwabbulwa mu ye.

Capt. Steven Alituha nga yakulira amaggye agalwanyisa envuba embi mu Buvuma akakasiza kino.