Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 1,122 listening Simba FM Live

Owa Special atiddwa e Mukono

September 17, 2020 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Oweyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwetandise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku muvuzi wa Special nebateeka omulambo gwe mu bbuutu.
Christopher Batte 58, nga mutuuze w’e Nyenje, yeyatiddwa abantu 3 abamupangisizza okubatwala ku kyali Bajjo wakati w’essaawa mwenda ne kumi nabbiri ez’olweggulo abamufumise ebiso emirundi 5 ku mutwe ne ku mukono.
Omulambo gwe bagutadde mu bbuutu ye motoka ye Toyota Premio nnamba UAY 765H nga ya silver wabula mu kugezaako okudduka yabalemeredde neggwa mu mwala nebayita abantu okubayambako.
Abazze bebalabye omusaayi nga gutonnya okuva mu bbuutu nebabuuza ekirimu wabula nga byeboogera tebikwatagana. Bwebaguddewo bbuutu kwekulaba omulambo olwo nebatandika okubakuba wabula ababiri omukyala n’omwami bemuludde nebadduka nebalekawo omu eyataasiddwa Poliisi.