Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 257 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Owa Pulayimale asirikkidde mu nabbambula w’omuliro – Luweero

February 23, 2017 · Mubiru Ali

Omuyizi wa Pulayimale ng’abadde mu kibiina ekisooka mu Kalagala Junior Primary School, erisangibwa e Luweero asirikkidde mu nabbambula w’omuliro akutte ekisulo ky’abayizi mu kiro ekikeesezza leero .

Omwana afudde ye Blasio Walusimbi nga amawulire agavaayo gagamba nti omuliro okukwata ekisulo kino gwatandikidde mu ddirisa ly’emmanju ku ssaawa nga ssatu ez’amalya g’ebyeggulo nga abayizi bakyali mu bibiina basoma.

Ye aduumira Police mu kitundu kya Savannah, Edward Kyaligonza agamba nti Walusimbi kati omugenzi, bweyalabye omuliro n’adduka okuyingira mu kisule nti asobole okutaasa ssente nnyina zeyabadde amuwadde nga ziri mu kkeesi ye, nga omu ku bayizi banne bwategeezezza wabula ekyokusaalirwa n’aziyiriramu nga kati z’embuyaga ezikaza engoye.

Wabula Police egombyemu obwala nannyini sssomero lino, Wilson Mugulu wamu n’abasomesa bataano era nebatwalibwa ku kitebe kya Police e Luweero nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso ku ki ddala ekiviviiriddeko nabbambula w’omuliro, naye essomero lyo mu kiseera kino liggaddwa.