Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 355 listening Simba FM Live

Owa Poliisi akubye omutuuze essasi mu kigere

July 16, 2020 · Mubiru Ali
Baszil Asindua, 30, nga mutuuze ku kyalo Ediofe mu Disitulikiti y’e Arua apooca nabiwundu oluvannyuma lw’omusirikale wa Uganda Police Force okumukuba essasi mu kigere.
Kigambibwa nti Asindua yabadde ne muganda we Mawa nga babadde batambulira ku Piki piki okugenda okuziika Kitaaabwe e Terego nebayimirizibwa ku check point e Manibe omusirikale eyategeerekeseeko erya Odongo nga akola n’ekitongole ekikuuma ebibira ekya National Forestry Authority – NFA kwebayimiriza nabalagira okuwaayo Piki Piki nebatandika okukayaana.
Odongo yavudde mu mbeera nakuba Asindua oluyi nga amulanga obutambala mask, Asindua nga mukugezaako okwerwanako kigambibwa Odongo weyamukubidde essasi mu kigere.