Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 194 listening Simba FM Live

Owa Poliisi akubye emotoka y’omuntu ekigwo gwakutte olwa mask

May 30, 2020 · Mubiru Ali

Omusirikale wa Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Kamwenge addusiddwa mu Ddwaliro lya Mbarara Hospital nga ali mu mbeera mbi nnyo oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje.
Omwogezi wa Poliisi owa Rwenzori West Vincent Twesigye agamba nti omusirikale PC No. 63940 Samuel Omala, 32, bwabadde ku mulimu ku luguudo lwa Kamwenge-Ibanda olwaleero akuttw Ddereeva abadde tayambadde Mask bwatyo nalagira nnyini motoka ekika kya Toyota Wish nnamba UBG 899E amuwe ebisumuluzo era nagikoleeza namutegeeza nti agitwala ku Poliisi y’e Kamwenge ng’ekizibiti wabula mu kubo emotoka emulemeredde nagikuba ekigwo neyefuula emirundi egiwera okukakana nga emumenye okugulu kwa ddyo wamu ne siteringi okumukuba mu kifuba.
Nannyini motoka naye abaddemu wabula ngasimattuse nga tafunye kisago kyonna.