Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 419 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Owa NRM lukulwe afiiridde mu kkomera – Jinja

February 5, 2018 · Mubiru Ali

Munnakibiina kya NRM era omuwagizi waakyo lukulwe mu Disitulikiti y'e Jinja afiiridde mu kkomera ly'e Kirinya gyeyasibibwa oluvannyuma lw'okulemererwa okuliyirira owa FDC eyamuwangula mu kkooti mu musango gw'akalulu .

Patrick Bakumweire ow'emyaka 50  abadde omukunzi omukuukuutivu owa NRM mu Jinja nga yavuganya  ku kifo kya Ssentebe w'eggombolola y'e Budondo n'awangulwa Wabika Ayubu owa FDC kati z'embuyaga ezikaza engoye. Yali yatwala Ayubu mu kkooti wabula nebamusingirayo era n'alagirwa okuliyirira munne obukadde ataano mu bubiri (52 Million) eza Yuganda wabula nezimulemerera era n'asindikibwa mu kaduukulu k'e Kirinnya akulunguleyo emyezi 16 gy'afiiridde,  afudde enkya ya leero era abakulira ekkomera lino omulambo nebagukwasa abooluganda lwe okuziika  

Wabula omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku bibiina by'obwegassi, Gume Fredrick Ngobi akyaliddeko lw'omuhenzi era n'ategeeza nti NRM egenda kuvunaanyizibwa ku by'okuziika byonna