Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 324 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Owa Military asse muganzi we

February 20, 2024 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo omusirikale wa Military Police Corporal Andebo Collins avudde mu mbeera n’asindiirira muganzi we Aturinda Peroni amasasi bwamusanze ngalinnya booda booda. Oluvannyuma me Andebo yekubye amasasi.
Kitegeerekese nti abaagalana bano bamaze ebbanga lya myaka nga 5 nga balina obutakkaanya era nga gyebuvuddeko batuuka nokwawukana okutuusa leero Andebo lwavudde mu mbeera.
Poliisi y’e Katwe etuuse mangu awagudde enjega eno, neddusa omuserikale e Mulago, afudde nga bakamutuusa.
Ne Aturinda afudde nga bakamutuusa ku ddwaliro e Nsambya.