Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 618 listening Simba FM Live

Owa LDU eyalabikira mu katambi nga akuba omuntu ekitiiyo yakwatiddwa

July 8, 2020 · Mubiru Ali
Akulira Akakiiko okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga akalwanyisa obukenuzi n’obuli bw’enguzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda Lt. Col. Edith Nakalema yavuddeyo ku mukutu gwa twitter nategeeza nti Omusirikale w’Eggye ekkuumabyalo erya LDU eyalabikira mu katambi nga akuba omuntu wabulijjo ekitiiyo yakwatiddwa nga wakuvunaanibwa mu kkooti y’amaggye. Eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF likolaganira wamu n’abenganda ze okulaba nti afuna obujanjabi obulungi.