Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 193 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Owa Bodaboda attiddwa mu ntiisa – Buyikwe

March 3, 2017 · Mubiru Ali

Abatuuze boomu Divizoni y’e Wakisi esangibwa mu Disitulikiti y’e Buyikwe baguddemu ekikangabwa enkya ya leero, bwebagudde ku mulambo gw’omusajja atemera mu gy’obukulu 22  omuvuzi wa Bodaboda nga yattiddwa abantu abatannategeerekeka era ne bakunta ne Pikipiki ye. 

Tadeo Sserugo kiganbibwa nti abatemu bano baamuggye ku ssiteegi ye w’akolera ku makya ga leero wabula oluvannyuma n’asangibwa nga attiddwa era nga omulambo gwe gusuuliddwa ku kyalo Wabikookooma ekisangibwa mu ggombolola y’e Malindi.

Wabula oluvannyuma abatuuze batemezza ku Police n’eggyawo omulambo neegutwala mu ggwanika ly’e ddwaliro ly’e Jinja bongere okugwekebejja.