Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 245 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Owa Boda akubiddwa akatayimbwa n’akalirawo – Mukono

March 27, 2017 · Mubiru Ali

Omugoba wa Bodaboda akubiddwa akatayimbwa abantu abatannategeerekeka n’akalirawo ne Pikipiki ye nebagitwala mu kiro ekikeesezza olwaleero e Nakabago ekisangibwa mu Munisipaali y’e Mukono.

Ssenfuma Richard ow’emyaka 27 nga ono abadde mutuuze ku kyalo ky’e Nyenje era nga kwekuli ne ssiteegi kwabadde akolera. Kigambibwa nti abatemu abamumizizza omusu baabadde batambulira mu mmotoka njeru kika kya ”Mark ii” nnamba UAK 682S.

Ssentebe w’abagoba ba Bodaboda mu kibuga Mukono akakasizza embeera eno wabula ye aduumira Poliisi y’eMukono Afande James Mwanga bwatuukiriddwa agaanye okubaako kyayogera ku nsonga eno .