Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 249 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Owa 39 amasannyalaze gamusse.

October 23, 2015 · Mubiru Ali

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Businge mu Disitulikiti ye Manafwa, omukyala wa myaka 39 bw’akubiddwa amasannyalaze negamuttirawo.
Namukonde Rose abadde atwala yo embuzi ze ku ttale, abadde ayitidde mu nsiko ya mulirwana bw’atyo n’alinnya ku wire y’amasannyalaze negamukuba.
Kiteeberezeddwa nti omusajja ono mulirwana w’omugenzi abadde abba amasannyalaze era kati wetwogerera nga police emukutte atemeza mabega wa Mitayimbwa.
Wabula omwogezi wa Police mu Rwenzori region agamba nti abantu bulijjo babadde basomesebwa ku nkozesa y’amasannyalaze n’akabi akali mu kugabba naye nga abantu beesuulirayo gwa naggamba. KITALO.