Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 504 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Owa 25 attiddwa lwakuteeberezebwa kubba kasooli – Matugga

October 16, 2017 · Mubiru Ali

Abatuuze ku kyalo Kisibe ekisangibwa mu Ggombolola y’e Gombe mu Disitulikiti y’e Wakiso baliko omuvubuka wa myaka 25 gwebakubye emiggo egimuserengesezza ekalannamo nga nga bamuteebereza okubba omubbi.

Omuvubuka ono abadde tannategeerekeka mannya ge, abatuuze bamusanze asibye ensawo za kasooli ssatu ku Pikipiki nebamukaza era nebalowooza nti mubbi okukkakkana nga bamuserengesezza e Kalannamo.

Police okuva e Matugga weetuukidde nga z’embuyaga ezikaza engoye era OC wa Police y’e Matugga ASP Kabagambe Herbert alabudde abantu obutatwalira mateeka mu ngalo.

Omusasi waffe Fred Mugabi atutegeezezza nti Kati oyo ye wookuna mu myezi ebiri okuttibwa olw’obubbi obukudde ejjembe mu kitundu kino.