Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,053 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Otafiire akkirizza nga bweyenyigira mu kuwaayo ettaka lya Gavumenti e Jinja

August 3, 2017 · Mubiru Ali

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za ssemateeka, General Kahinda Otafiire akkirizza nga bweyenyigira mu kuwaayo ettaka lya Gavumenti eriri ku poloti 60 okutuuka ku 62 ku luguudo Aldina erisangibwa mu kibuga Jinja neriguzibwa nannyini kkampuni ya Movit , Birungi Simpson era okukkakkana nga bakoonye ku ttaka ekizimbe kya Gavumenti.

Otafiire bino abituuseeko enkya ya leero bwabadde alabiseeko mu kakiiko akaateekebwawo Pulezidenti Museveni okunoonyereza ku ndooliito z’ettaka mu ggwanga 

Wabula bwayongedde okukunyizibwa akakiiko kano yeegaanyi okuba nga y’avunaanyizibwa ku nsobi endala ezaakolebwa mu mbeera.