orient bbanka ebanja haruna obuwumbi 10

Orient bank Ltd baddukidde mu kkooti Enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala ne baloopa omugagga Haruna Sentongo nga baagala kkooti eno emuwalirize aseseme obuwumbi 10 (10,397,156,548). Bbanka bayise mu bannamateeka baabwe aba Kampala Associated Advocates ne baloopa Sentongo ku musango nnamba CS 36/2019.
Orient Bank Limited mu mpaaba yaabwe bagamba nti omuwawaabirwa nga June, 3, 2015 yasaba looni ya 500,000,000 ate nga March 12 n’asaba looni endala ya ddoola 750,000 Era nga May 25 2015 ne bamuwa obuwumbi 2 nga August, 12, 2015 n’addamu n’asaba looni endala ya buwumbi 2 era ebiwandiiko bya kkooti byalaze nti nga September, 23, 2015 yasaba obukadde 800 era nga December, 3, 2015 bbanka n’emuwa obukadde 500.
Ng’ayita mu bbaluwa eyawandiikibwa nga November 18 2015, Sentongo yasaba doola 3,000,000,000 okusobola okumalirizza ekizimbe kye ekiri ku poloti 250 ne 251 kibuga bbuloka 12. Sentongo teyakomawo era n’asaba looni endala ya 500,000,000 era n’addamu n’asaba 700,000,000 nga March 29 2016. Ate era nga May 13 2016 n’asabayo 100,000,000 ne mu May 26 2016 n’asaba 1,500,000,000.
Ssente zaamuweebwa wabula oluvannyuma n’atandiika obutasasula bbanja limubanjibwa buli mwezi. Yalaba bbanka emuli bubi n’atunda eky’obugagga kye ekiri mu kibuga ku bbulooka 12 poloti 825 nga July 26, 2017 ku ddoola 700,000.
Yasasulako bbanka eno ddoola 600,000 nga kati abanjibwa 10,397,156,548 z’akyalemeddwa okusasula. Ssente ezimu yazeewola kumalirizza Nakayiza Mall, n’okusasula abaali baamuwa ebikozesebwa.
Yawaayo omusingo oguli mu kibuga ku bbulooka 12 poloti 825 e Mengo, Kibuga bbulooka 12 poloti 251 e Mengo nga ziri mu mannya ga Haruna Sentongo.
Aba bbanka baawunzise basaba kkooti eteekewo ekiragiro ekimusasuza ssente ezo ku mpaka. Bino we bijjidde nga Sentongo alina emisango emirala mu kkooti eno nga n’egimu gyaggwa okusalwa.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
zaake aweereddwa bail