Breaking
News: Eggana liba lya nte ate eggano? Entaana yomwana atakaabye eyitibwa etya? News: Omwogezi wEkitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu Ggwanga ekya Uganda National Drug Authority Abiaz Rwamwiri yasimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa News: Olutindo-Baguma-URA oleeta wano emotoka nebakugamba nti bbo balina embalirira yomusolo ogwaayo!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 154 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Omwogezi wEkitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu Ggwanga ekya Uganda National Drug Authority Abiaz Rwamwiri yasimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa

November 19, 2026 · Radio Simba

🚨 Omwogezi w’Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ddagala mu Ggwanga ekya Uganda National Drug Authority Abiaz Rwamwiri yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti evunaana abakenuzi n’abali b’enguzi Paul Mujuni nasomerwa omusango gwokunjingirira ensaasanya y’ensimbi obukadde 296 nga zaali z’amawulire wamu n’okutambuza emirimu gy’ekitongole mu Ggwanga. Rwamwiri kigambibwa nti era yalemesa abakola okunoonyereza okukola omulimu gwabwe. Kigambibwa nti wakati wa July 2023 ne March 2026, yaweebwa obukadde 324.5 nga zamawulire wamu n’emirimu egyenjawulo mu bitundu by’Eggwanga wabula nakola embalirira ya ssente obukadde 296 nga akimanyi bulungi nti njingirire nagiwaayo eri Omuwamdiisi wa NDA.
Bya Christina Nabatanzi

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

Radio Simba News