Breaking
News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa News: Omubaka akiikirira Nansana Municipality mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform Zambaali Bulasio Mukasa avuddeyo nasaba Gavumenti News: Minisita wAmawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi wObwakabaka, Oweek.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 773 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Omwogezi wa UPDF byewakoze byakwekaza nnyo – Bobi Wine

March 2, 2023 · Mubiru Ali
Omukulembeze wa @National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine yavuddeyo neyewuunya omwogezi w’eggye lya UPDF Brig. Felix Kulayigye olwekyo kyeyayise okwekaza emisana ttuku nokunaabuuka ensongi naleeta obukodyo bwagamba nti bwakozesebwa dda nnyo okubukozesa kati okulimba Eggwanga.
Okwogera bino kyadiridde Brig. Kulayigye okuleeta Eric Mwesigwa eyavaayo nalumiriza abebyokwerinda okumutulugunya ate bweyazze n’omwogezi wa UPDF nakyuusa byeyayogera nga agamba nti NUP yamusuubiza obukadde 50 nebamwokya alumirize Gavumenti wabula zebatamusasudde.
Kyagulanyi agamba okuva Mwesigwa lweyalumiriza ab’ebyokwerinda okumutulugunya abadde alondoolwa nga bino ebituuseewo ye tabyewuunyizza.