Breaking
News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi. News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 291 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo…

November 24, 2025 · Radio Simba

Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nalangirira nga Poliisi bweweze abasimbyeewo ku bwa Pulezidenti, Palamenti, Gavumenti ezebitundu naba Special Interest Groups (SIGs) okutambulira mu nseregende okwetoloola Eggwanga lyonna.
Asabye bonna abesimbyeewo okugoberera ebiragiro ebiggya ebiteereddwo era nti enteekateeka zonna zirina kukolebwa nga bonna abavunaanyizibwa benyigiddemu okuli; Poliisi n’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde.
Kituuma agamba nti abesimbyeewo balina kusanga abawagizi baabwe mu bifo webakubye enkungaana so ssi kutambula nabo mu nguudo.
Poliisi era eweze emotoka agafemulago okukozesebwa okuggula amakuba nategeeza nti ba Ddereeva baazo bakukwatibwa.
Kituuma ategeezezza nti bavumirira ebikolwa byonna eby’efujjo omuli n’okuyuza ebipande byabesimbyeewo nti era anakwatibwa wakuvunaanibwa.
Poliisi egamba nti waliwo abakozesa obubi emitimbagano nga bikwatagana n’okunoonya akalulu, Poliisi egamba nti bano bakukwatibwa bavunaanibwe mu mateeka.
#ffemmwemmweffe
#protestvote2026
#AnewU

Radio Simba News