Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 612 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM
News

Omwogezi wa Uganda Police Force eyebidduka SP Micheal Kananura avuddeyo nategeeza nga CPS e Masaka bweyakutte ba Ddereeva ba Subaru 6 nebaggalira

May 11, 2026 · Radio Simba

🚨 Omwogezi wa Uganda Police Force eyebidduka SP Micheal Kananura avuddeyo nategeeza nga CPS e Masaka bweyakutte ba Ddereeva ba Subaru 6 nebaggalira lwakuvugisa kimama ku luguudo lwa Masaka e Kingo ne Kaddugala.
Bano okukwatibwa kyaddiridde abantu okwekubira enduulu ku Poliisi olwefujjo lyebabadde bakola ku luguudo era oluvannyuma Poliisi nga yeyambisa kkamera yafunye obutambi bw’e Kyabakuza, enkulungo y’e Kijjabwemi, Siteegi y’e Nseenene ne Masaka ku Welcome. Mu kwekkaanya obutambi kyazuuliddwa nti babadde bayisiza mu bifo ebikyaamu nga bavuganya mu kuvuga endiima mu ngeri eteeka abantu abalala abakoze oluguudo mu bulabe.
Bano babakwatidde Kaddugala era nga balindirira kutwalibwa mu Kkooti bavunaanibwe.
Bya Kamali James

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

Radio Simba News