🎵 Omwogezi wa Poliisi ya Kampala n’emiriraano Rachael Kawala avuddeyo ku ttemu ly’omuyimbi Matovu Moses omuyimbi mu Afrigo Band eribaddewo olwaleero nga 24-September-2026 e Kibuli Depot mu Makindye: “Okunoonyereza okwakakolebwa kulaga nti ku ssaawa kumi neemu n’ekitundu ezookumakya, omugenzi agenze mu maka ga muganzi we, nti wabula bwebabadde bavaayo nebalumbibwa omusajja eyaliko muganzi w’omukyala abadde ne Matovu. Tukyanoonyereza okumanya ku kiki ekidiridde oluvannyuma lwokukwata omukyala abadde ne Matovu atuyambeko mukunoonyereza.
Omugenzi afunye ebiwundu ebyamaanyi era naddusibwa owa booda booda mu Ddwaliro e Kibuli. Omukyala akwatiddwa akyali mu kaduukulu ka Poliisi okuyamba ku bambega ba Poliisi okukola okunoonyereza. Omusajja naye ategeerekese era nga Poliisi etandise omuyiggo okulaba nti emufuna. Bambega ba Poliisi bakyagenda mu maaso n’okukuŋŋaanya ebyenjawulo ebyogerwa okusobola okuvaayo nekituufu.”
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

