Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 511 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Omwogezi wa Gavumenti alabula abantu obutamala gatambula mu nnaku enkulu.

March 25, 2016 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Gavumenti era akulira ekitebe kya Gavumenti eky’essengejjero ly’amawulire Ofwono Opondo alabudde bannansi obutamala gatambulatambula mu biseera by’ennaku enkulu ez’okujukkira a mazuukira ga Yesu Kulisitu.

Opondo bino abyogedde asinziira ku mbeera y’obutali butebenkevu mu bitundu by’egwanga ebitali bimu. Abadde awa obubaka bwe obw’okujaguza amazuukira ga Yesu Kulisitu ng’asinziira mu ofiisi ya Pulezidenti mu Kampala.

Akinogaanya nti abantu balina okuba a beegendereza ennyo obulumbaganyi oba okugwa mu mitego gy’abakyamu.

Wabula agasseeko n’okukakasa nti Gavumenti tegenda kuta Besigye okutuusa nga enteekateeka ze ez’okutabangula eggwanga aziggyemu enta.