Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Weekend Taxi ▶ UP NEXT Simba Sports 2:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 319 listening Simba FM Live
weekend show photo

On Air

Weekend Taxi

Brenda Nansubuga

12:00 PM - 2:00 PM 12:00 PM - 2:00 PM

Omwezi omutukuvu ogwa Ramadan gutandise

June 6, 2016 · Mubiru Ali

Akulira Sharia mu  Yuganda ku Uganda Muslem Supreme Council Sheikh  Yahaya Ibrahim Kakungulu alangiridde okutandika omwezi omutukuvu ogwa Ramadan (ekisiibo).

Ayagalizza abasiraamu bonna ekisiibo ekirungi n’abakubiriza okusaala Talawuya ez’okubeerangayo buli lunaku ku muzikiti ku ssaawa bbiri n’ekitundu ezeekiro.

Ate ye Minisita omubeezi ku byenjigiriza avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu masomero ga pulayimale Dr Chrizestom Muyingo ayozaayozezza abasiraamu olw’okutuka mu mwezi omutukuvu era n’abakubiriza okubeera abamalirivu mu kiseera kino

Wabula ye Imam wa Palamenti Haji Latif Ssebagala abasabye okudduukirira abalina obwetaavu, abali mu makomera n’abalala abali mu mbeera eyo.